Van Dijk yazannyirako ttiimu ya Budaaki ey'abavubuka nga yakiikirira eggwanga lye ku mitendera gy'abaliwansi w'emyaka 19 ne21. Yatandika okuzannyita ttiimu enkulu mu 2015, n'afuuka omuduumizi waayo nga kapiteeni mu mwezi ogw'okusatu mu 2018. Mu mwaka ogwaddako, yeyali kapiteeni wa ttiimu ya Budaaki bweyali etuuka kufayinolo zaUEFA Nations League, gyebaakwatira eky'okubiri.
Van Dijk yazalibwa omusajjaomudaaki n'omukyala omusurinamese mu kubugaBreda . Ng'akula, yazannya ng'omupiira buli weyagusingaana nga nadala kunguudo, ne butimba obwali ng'obwenkokoto, n'emipiira egyali ng'egy'olwomukaaga buli ku makya.. Obudde bweyalina ng'okusamba omupiira ku akademi yaWillem II yabugata ngako omulimu gw'okwoza amawuwaani.[3][4] Yasooka kuzannya ng'omuzibizi w'okuddyo wabula nekigaana weyava okufulibwa omuzibizi w'omumasekati mu 2008 ng'alina emyaka 17, oluvannyuma lw'okuwanvuwa neyeeyongerako yiinchi 18.[5] Wadde nga yeeyongerako obuwanvu era nakyusibwa ne namba gyeyali azannya, eyali omutendesi wa kiraabu ya Willem II ey'okubiri mu kaseera akoEdwin Hermans yalina okukiriza nti omusambi ono yalina kiremya mungi eyali amulemesa okuzannyira ttiimu esooka.[4] Mu 2010, yalabibwa eyaliko omuzannyi wa ttiimu ya Budaaki ey'eggwangaMartin Koeman, eyali akola ne kiraabu yaFC Groningen mu kaseera ako ekyamuletera okugyegatako kuba yali takyalina ndagaano mu mwaka ogwo.[5]
Van Dijk yalwana nnyo okulaba ng'azannyira kiraabu ya Groningen esooka ng'abagidukanya baali bagamba yali mukoowu oluvannyuma lw'okuba nga yafuna ng'obudde bungi ng'azannyira akademi ya Willem II ne ttiimu ey'okubiri. Yatandika okuzannya omupiira gwe ogw'ensimbi mu kiraabu eyo nga 1 mu mwezi ogw'okutaano 2011, bweyajja mu dakiika ye 72ng'ava ku katebe webaali bafulumyaPetter Andersson nga bawangula 4-2 kiraabu yaADO Den Haag .[6] Nga 29 omwezi ogw'okutaano ga bazannya kiraabu y'emu, yatandika omupiira gwe ogwali gusooka ku Groningen n'ateeba ggoolo ye eya pulo nga yakuba ggoolo biri nga bawangula 5–1 mu mupiira gw'okusalawo eyalina okugenda okuzannya mu mpaka zaUEFA Europa League.[4]
Mu liigi ya Budaaki eyaEredivisie 2011-12, Van Dijk yazannya emipiira 23 mu ttiimu yaEredivisie n'ateeba ggoolo ye eya sizoni eyasooka yagiteeba bwebaali baFeyenoord 6-0 mu mwezi ogw'ekumi nga 30, 2011 .[7] Yafunamu obuzibu obw'obuntu, wabula bweyaweza emyaka 20, yatwalibwa mu ddwaliro ng'alinaobuzibu mu lubuto nga n'ensigo zaalimu obutwa. Oluvannyuma yakyasanguza nga bweyawonera awatono okufa kuba ne ddwaliro lyali limusabe ateekeomukono kudaame singa abeera afudde..
Yasobola okuddayo mu Groningen, n'asigala ng'akakasa mu sizoni eyaddako, wabula eyaddako engeri gyeyali akuze okusinga kiraabu, baasalawo bamuwa nga kiraabu eneneko mu liigi ya Budaaki nga muno mwemwali neAjax, naye nga zino zonna zaagaana okumutwala.
Mu mwezi ogw'omukaaga nga 21 2013, yeegata ku kiraabu yaCeltic ku bukadde bwa pawuundi 2,600,000 ey'emyaka enna ng'ebitundu 10 ku 100 eby'okutunda, bya bya kiraabu ya Groningen. Yasamba omupiira gwe ogusooka mu gw'omunaana nga 17 ng'ayingira mu kyaEfe Ambrose eyagibwayo mu daakiika 13 ezaali zisembayo nga bakubaAberdeen 2–0 muliigi ya Scotland eyababinywera Scottish Premiership ku kisaawe kyaPittodrie Stadium. Nga wayise wiiki emu, yatandika omupiira gwe ogusooka webaali balemagana 2–2 neInverness Caledonian Thistle kuCeltic Park. Mu mwezi gw'okuminoogumu nga 9 yateeba ggoolo ze ezasooka ku kiraabu ya Celtic bweyatomera omupiira mu bitundu byombi ku 4-1 zebaakubaRoss County.[8] Oluvannyuma lw'okuduka ng'ali yekka, yateeba ggoolo yokka eyabawa obuwanguzi nga bakubaSt Johnstone nga 26 gw'ekuminebiri.
Yaddamu n'ateeba nga 26 omwezi ogusooka mu 2014 ku 4–0 nga Celtic ewangula omupiira gwayo ogw'omudiringanwa nga bakubaHibernian.[9] Ng 25 ogw'okubiri , yagobwa ku kisaawe oluvannyuma lw'edakiika 13, Aberdeen ng'ebakuba 2-1 bweyakola ekisobyo kuPeter Pawlett; nga gwemupiira Celtic gweyasooka okukubwa mu sizoni. Nga Celtic emazze okuwangula ekikopo kya liigi , Van Dijk yaddamu n'ateeba mu mwezi ogw'okutaano nga 7 ggoolo eyali ey'okusatu ku 3–1 nga bakyalidde St Johnstone, wabula nga gwagweera mu maliri ga 3–3. Y'omu ku basambi ba Celtic abasatu abaatekebwa mu ttiimu enonderere okuva mu liigi ya Scotland ey'omwaka eyaPFA Scotland Team of the Year. Yalondebwa ku ky'okuweebwa ekirabo ky'omusambi wa Scotland ow'omwakaPFA Scotland Players' Player of the Year, wabula musambi mune okuva mu CelticKris Commons. n'akimuwangulako
Mu gw'omusanvu nga 22 2014, Van Dijk neTeemu Pukki buli omu yateeba ggoolo biri ku 4–0 ewaka nga bakubaKR mu kikopo kya kiraabu empanguzi eza bulaaya ekyaUEFA Champions League ez'okubasunsula, nga kyasobola okuteeka ttiimu yabwe mu lawuundi eyali eddako ku mugate gwa ggoolo 5-0.[10] Ggoolo ye eyasooka musizoni ya liigi ya Scotland yajja nga 9 mu gw'okuminoomu, bweyamaliriza omupiira ogwali guva mu koona lyaStefan Johansen nga bakuba Aberdeen 2-1.[11] Waayita wiiki satu, Van Dijk n'ateeba ggoolo biri ku 4-0 ng'emu yeyasooka n'eyasembayo nga Celtic ekubaHeart of Midlothian mu mwetooloolo ogw'okuna ogw'empaka zaScottish Cup.[12] Enaku nnya nga ziyise oluvannyuma lwekyo, ggoolo ye ey'omukaaga eya sizoni, yali emala okubawa obuwanguzi eri balirwana mu kibugaGlasgow abaPartick Thistle.
Yaddamu n'ateeba mu mwezi ogusooka nga 21 2015 mu mupiira gwebagulawo neMotherwell gyebaakuba 4-0. Mu gw'okubiri nga 26, yagobwa ku kisaawe mu dakiika ya 36 nga battunka neInter Milan bweyakola ekisobyo kuMauro Icardi, wabula Celtic yakubwa 1–0 mu kiro ekyo ng'omugatte gwagwa 4–3 mu kikopo kya UEFA Europa League ku mutendera gwa ttiimu 32. Baddamu nebamugoba ku kisaawe nga 8 ogw'ogw'okusatu ku luzannya lwa 'quarter' olwa Scottish league Cup webaali battunka neDundee United kuTannadice Park, bweyafuna kaadi emyuufu nga bakasambako edakiika 11 oluvannyuma lw'okulwanagana neCalum Butcher. Kiraabu yajulirira nebagyawo kaadi eno eyali egenda okumusubya fayinolo zaScottish League Cup Final eyali eya wiiki eddako nga n'eyaPaul Paton, yagibwawo kuba baalina kugiwa Butcher. Van Dijk yazannya edakiika 90 ku fayinolo ezaali kuHampden Park, omupiira Celtic gweyawangula 2–0. Mu gw'okusatu nga 18, omupiira gwa Celtic ogw'omudiringwana nga bazannya Dundee United, Van Dijk yateeba mu dakiika esembayo nga bawangula 4–0 mu mpaka za Cup ezaali ez'okuddamu.
Mu gw'okuna nga 19 yavuganya mu mpaka za Cup ku luzannya oludirira olw'akamalirizo ne Inverness ku Hampden, nga Van Dijk yeyagulawo okuteeba ng'asimudde ekisobyo. Oluvannyuma lw'okugobwa kw'omukwasi wa ggooloCraig Gordon, Celtic baagikulembera 3–2, ekyakendeeza emikisa gyabawe egy'okuwangula ebikopoebisatu.[13] Nga wayise enaku satu, yaddamu n'ateeba okuva mu kisobyo nga bawangula 2-1 webaali bakyaliddeDundee. Ttiimu ye yaddamu neewangula liigi,nga Van Dijk yatekebwa ne mu ttiimu ya liigi eya sizoni omulundi ogw'okubiri ogw'omudiringanwa.[14] Baamuteeka kulukalala lw'abaali bavuganya kungule y'omuzannyi w'omwaka wabula era musambi mune Stefan Johansen n'egimuwangulako. okuva mu Celtic.
Oluvannyuma lwa Cletic okuwandulwaMalmo ey'eggwanga lya Sweden mu z'okusunsula abaali bagenda mu mpaka za kiraabu empanguzi eza2015–16 UEFA Champions LeagueVan Dijk yatandika okubuusa buusa ebiseera bye eby'omumaaso mu kibuga Glasgwo.
Nga 1 ogw'omwenda mu 2015, Van Dijk yateeka omukono kundagaano eyali ey'emyaka etaano ne kiraabu ya liigi ya Bungereza muPremier League eyaSouthampton, ng'ekyatendekebwaRonald Koeman, ku bukadde bwa pawuundi 3 .[15][16]
Yasamba omupiira gwe ogusooka ne kiraabu ya Southampton nga 12 ogw'omwenda nga balemagana 0–0 neWest Bromwich Albion kuThe Hawthorns.[17] Waayita wiiki biri Van Dijk n'asamba omupiira gwe ogw'okusatu mu premier liigi n'ateeba ggoolo ye eyasooka mu kiraabu eno, bweyatomera omupiira mu dakiika ya 11, Southampton neegukulembera mu kisobyoJames Ward-Prowse kyeyasimula nga bakubaSwansea City 3-1 eyali ebakyalidde.[18] Nga 7 ogw'okutaano, mu 2016, Van Dijk yateeka omukono kundagaano ya myaka mukaaga ne kiraabu eno.[19]
Van Dijk yasigala ne Southampton ngasizoni ya 2017–18 etandika ng'omupiira gwe ogwali gusooka okuva eyali yava ku buvune bweyalina mu mwezi ogusooka, yava ku katebe nga bawangulaCrystal Palace 1-0 mu gw'omwenda nga 26 September. Yasamba omupiira gwe ogwali gusembayo mu Southampton nga 13 mu mwezi ogw'ekumineebiri mu 2017, iwebaali bakubwa Leicester 4-1 ng'ebakyalidde .[23] Gwe gwali omupiira gwe ogwali gusembayo mu kiraabu Southampton, kuba yagibwa ku ttiimu etandika olw'engaambo ezaali zeetoloolera ku biseera bye eby'omu maaso mu kiraabu eyo.[24]
Mu gw'okumineebiri nga 27 2017, Van Dijk yalangirirwa nga bweyali agenda okwegata ku Liverpool ng'okugula abasambu okw'omwezi ogusooka kuguddwawo nga 1 mu 2018[25] ku muwendo gwa bukadde bwa pawuundi 75 . Kiraabu ya Celtic yalina okufunako ebitundu 10 ku 100 nga kiva ku kalagaane akaali mundagaano gyebaali baakola nga bamuguza kiraabu Southampton.[26] Southampton yategeeza nti omuwendo ogwamugulwa ogutayogerwa gwali gwakufuuka omuzibizi eyali asinga okugulwa ssente ennyingi munsi yonna..[27]
Yazannya omupiira gwe ogwaali gusooka mu Liverpool nga 5 ogusooka mu mwetoloolo ogw'okusatu mu mpaka zaFA Cup n'ateeba ggoolo ey'obuwanguzi nga bakuba ttiimu gyebalinako embirabye eyaEverton 2-1. Mu kukola kino yafuuka omusambi eyali asooka okuva kuBill White mu 1901 okuteeba mu mupiira gwe ogusooka mu mupiira gw'embirabye ogwaMerseyside derby.[28] Van Dijk neDejan Lovren yazimba enkolagana ey'amaanyi mu mutima gw'ekisenge kya Liverpool, ng'omudaaki yasimibwa okubeera nga yeyali aterezeza obuzibu Liverpool bweyalina mu kuzibira..
Van Dijk yatekebwa mu ttiimu ya sizoni eyaUEFA Champions League Squad of the Season, wadde ng'empaka za kiraabu okuva kulukalo lwa bulaayaChampions League, yazizannyako kitundu, ng'ow'eby'ekikugu muUEFA yagamba "Van Dijk yatuuka kuAnfield n'akumakuma bane n'okubagumya kumitendera z'okusirisizaawo." Van Dijk yazannya edakiika 90 mu fayinolo z'ekikopo kya kirabu empanguzi eza bulaaya eza2018 UEFA Champions League Final,Real Madrid, bweyakuba Liverpool lost 1–3. Van Dijk yazannya emipiira 22 mu mpaka zonna mu sizoni ye eyasooka mu Liverpool n'ateeba ggoolo emu.
Nga 20, ogw'omunaana mu 2018, Van Dijk yalondebwa abaBCC Sport neSky Sportng'omusambi w'olunaku olw'omutindo gweyayolesa nga bakuba Crystal Palace 2-0. Van Dijk yafuna ekiraboky'omusambi wa Liverpool ow'omyezi olw'omutindo gweyayolesa mu mwezi ogw'omunaana . Nga 2 ogw'ekumineebiri, Van Dijk yakola Divock Origi mu dakiika eya 96 webaali bakuba Everton 1-0 mu mupiira ogw'embiranye, ng'esombi yava ku mukwasi wa ggoolo ya EvertonJordan Pickford. Omudaaki yaweebwa ekirabi ky'omusambi w'omwezi ogw'ekuminoogumuPFA Player of the Month mu 2018. Mu gw'ekumineebiri nga 21, Van Dijk yateeba ggoolo ye eyasooka mu liigi ya bungereza eya Premier League nga Liverpool ekubaWolverhampton Wanderers 2-0. Omudaaki yayongera okwolesa foomu enungu mu sizoni ya 2018–19 bweyawangula ekirabo ky'omuzannyi eyasinga mu liigi mu mwezi gw'okumineebiri, ekya Premier League Player of the Month.
Mu gw'okubiri nga 27 mu 2019, Van Dijk yateeba ggoolo biri nga bakubaWatford 5-0. Mu mwezi ogwaddako, yateeba ggoolo emu, nga ye ggoolo ye eyali esooka mu kikopo kya kiraabu empanguzu eza bulaaya Champions League n'ateekawo ne asisiti ku 3–1 zebaakubyaBayern Munich. Mukukola kino yafuuka omusambi eyasooka okuva kuCraig Bellamy mu 2007 okuteeba n'okukola asisiti mu Liverpool ku mutendera gw'okusirisizaawo nga bagenze ku bugenyi.
Mu gw'okuna nga 20, yali omu kubazannyi omukaaga abaalondebwa ku kirabo ky'omuzannyi w'omwakaPFA Players' Player of the Year nga yaliko ne musambi mune okuva mu LiverpoolSadio Mané. Nga wayise enaku nnya , yatekebwa mu ttiimu y'omwakaPFA Team of the Year n'abazannyi ba Liverpool abalala okuli,Trent Alexander-Arnold, Mané neAndrew Robertson. Mu gw'okuna nga 28 mu 2019, yalondebwa ng'omuzannyi w'omwaka PFA Players' Player of the Year. Oluvannyuma lwa Liverpoolokuwangula 2–0 ng'ekubaTottenham mu fayinolo za kiraabu empanguzi eza bulaaya eza2019 UEFA Champions League Final nga 1 ogw'omukaaga, Van Dijk yalondebwa aba UEFA ng'omuzannyi w'olunaku.
Mu gw'omunaana 2019, Van Dijk yawangula ekirabo kya UEFA eky'omusambi w'omwaka. Nga 2 ogw'omwenda mu 2019, yateekebwa ku lukalala lw'abazannyi abasatu abaali bavuganya kungule y'omuzannyi wa FIFA eyali asinza FIFA football awards. Nga 23 ogw'omwenda mu 2019, yakwata kyakubiri ku kirabo ky'omuzannyi wa FIFA omusajjaThe Best FIFA Men's Player n'ateekebwa ne mu ttiimu ya FIFA eyaFIFpro Men's World 11. Mu gw'ekumi 2019, Van Dijk yatekebwa ku lukalaka lw'abazannyi 30 abaali bagenda okuvuganya ku kirabo ky'engule y'omuzannyi eyasinga okucanga akapiira munsi yonnaBallon d'Or. Kumukolo ogwo mu mwezi gw'ekumineebiri, yamalira mu kifo kya kubir emabega waLionel Messi. Nga 21 omwezi ogw'ekumineebiri mu 2019, oluvannyuma lw'okusubwa oluzannya oluidirira olw'akamalirizo olw'ekikopo kya2019 FIFA Club World Cup olw'obulwadde, Van Dijk yasobola okuzannya fayinolo neFlamengo Liverpool neewangula ekikopo omulundi ogwali gusooka mu byafaayo.
Van Dijk yayongera okumannyikwa mu mwaka ogwo bweyatekebwa mu ttiimu ya bulaaya eya 2019UEFA Team of the Year. Mu mwezi ogusooka ogwa 2020 nga 19, Van Dijk yateeba ggoolo ye eyasooka mu mbiranye ya scoredNorth-West Derby nga bakuba Manchester United mu mupiira Liverpool gweyawangula 2–0 ku kisaawe kya Anfield mu Premier League.
Mu sizoni ya 2019–20 e Bungereza, Van Dijk yatandika n'amalako buli dakiika gyeyazannya mu Liverpool.
Mu gw'omwenda nga 12 2020, Van Dijk yateeba omutwe mu mupiira gwebagulawo neLeeds United mu sizoni eyali empya.
Mu gw'ekumi nga 17, yagibwa ku kisaawe mu dakiika ey'omukaaga mu mupiira gw'embiranye ogwaMerseyside derby oluvannyuma lw'okukolebwako ekisobyo ggoolo kkipa wa EvertonJordan Pickford. Ku lunaku olwaddako, kyalangirirwa nti yali afunye obuvune mu viivi ey'okugulu kwa ddyoACL injury nga yali wakulongosebwa . Van Dijk yali asuubirwa okukomawo oluvannyuma lw'emyezi mukaaga oba 12 . Nga 30 omwezi ogw'ekumi kyalangirirwa ng'okulongosebwa kwe ku buvune bweyali afunye wekwali kugenze obulungi . Omutendesi wa ttiimu ya budaaki ey'eggwangaFrank de Boer yali asuubira nti Van Dijk yali wakukomawo ng'empaka z'ekikopo kya bulaaya2020 European Football Championship tezinatandika, Van Dijk yasalawo okusigala ng'ali ku bujanjabi okutuusa sizoni empya ng'etandise.
Van Dijk yasobola okuddamu okuzannya omupiira omulundi ogwali gusooka mu myezi mwenda nga 29 ogw'omusanvu mu 2021, nga yayingira mu kitundu eky'okubiri ng'ava ku katebe mu mupiira ogwali ogw'omukwano neHertha BSC. Mu gw'omunaana nga nga 13 2021, Van Dijk yateeka omukono ku ndagaano ya myaka enna nga yali wakusigala mu kiraabu eno okutuusa 2025. Ggoolo ye eyasooka mu Liverpool yajja oluvannyuma lw'emyezi 14 bweyali ateeba kiraabu ya Southampton gyeyava ng'eteeba omupiira ogwali guva mu koona.
Van Dijk yazannya omupiira gwe ogwaali gusooka ku ttiimu y'eggwanga eyaNetherlands nga 10 omwezi ogw'ekumi 2015, mu mupiira gwebaawangula 2–1 nga bakubaKazakhstan gyebaali bakyalidde mu z'okusunsula abaali bagenda mu za bulaaya muUEFA Euro 2016.
Yaweebwa ekyakapiteeni wa ttiimu y'eggwanga eyali maneja Ronald Koeman nga 22 ogw'okusatu mu 2018, ng'omupiira gwe egwasooka nga kapiteeni gwaliwo olunaku olwaddako nga bakubwa Bungereza 1–0 ewaka. Nga 26 ogw'okusatu yateeba ggoolo ye ey'eggwanga nga 3–0 nga bakuba bakyampiyoni ba bulaaya abaPortugal ku kisaawe kyaStade de Genève. Nga 13 ogw'ekumi, yateeba ku 3-0 zebaakuba bakyampiyoni ba 2014 b'ensi yonna aba 2014 aba Girimaani mu mpaka zaUEFA Nations League. Ekisinga okubeera ekirungi, yateeba ggooloey'ekyenkanyi mu mupiira ogwaddako ne Girimaani 'omumyuka w'omutendesi Dwight Lodeweges okumuwereza akapapula akatono nga bagenze mukuwumula nga kamusaba okuzannya mu maaso mu dakiika ezisembayo ez'omuzannyo. Ggoolo eyo yabasobozesa abadaaki okuwangula ekibinja nga bebakikulembedde mu mpaka za Nations League. Yeyali kapiteeni w'eggwanga lye kufayinolo Portugal gyebakubira 1-0..
Mu gw'okutaano ogwa 2021, Van Dijk yegya mukuzannya empaka z'ekikopo ky'amawanga ga bulaayaUEFA Euro 2020 ekyali kyongereddwayo okumusobozesa okufuna obudde obumala okuwona obuvune okuva mu mwe ogw'omwenda 2020 .
Van Dijk muzannyi wa kiwago akozesa okugulu kwa ddyong'omuzibizi, atera okubeera ku ludda lwa kono mu kuzibira mu masekati,wadde ng'asobola n'okuzannya ku luddwa lwa ddyo olw'omuzibizi w'omumasekati. Alina ekitone ky'okubeera ow'emisinde, obukodyo obulungi n'eriiso ly'okuteeba, ng'asobolan'okusimula ebisobyo. Okusinziira ku by'asobola okukola, eyali muzannyi mune mu Celtic Kris Commons yagamba nti, Van Dijk yali mukakamu n'omupiira, n'ayongerako nti yalina obukodyo obulungi n'ekigere ekya ddyo ekisufu. Yali mulungi mu kusimula ebisobyo ng'ebimu yasobola ng'okuziteeba ku kiraabu ya Celtic ng'era zaali nungi. Yali asoma omuzannyo bulungi ng'era nali mukiririzaamu kuba nali mannyi yali amannyi ky'akola."
Neil McGuinness,eyali anoonyeza Celtic abazannyi agamba Van Dijk yaleetebwa nga tumuyita buli kimu singa yali oyagala omuzibizi ow'erinya", nga bamutendereza okubeera omuzibizi eyali omulungi mu kuzannya omupiira n'okwesigaliza emipiira egy'omubanga, n'obukodyo bw'emipiira egivudde mu kusimula ebisobyo, n'okubeera omukulembezze omulungi, ng'amwogerako nti okuva weyagenda mu Bungereza , yalina obukugu [...] okwetaba n'okubaza byeyongerako ng'era asobola okukuba buli wamu ". McGuinness alina okukiriza nti ekizibu kya Van Dijk's ekisinga obunene bw'akubula singa omupiira bwebazannya kiraabu ye ebeera nga teri ku puleesa ".[29] Mu 2018, Steve Douglas owaThe Globe and Mail yanyonyola ku Van Dijk mu bigaboi bino: " alina amaanyi mu bwengula apimibwa n'omupiira nga gumuli kubigere, alina obwangu n'okweteeka mu kifo gy'atekeddwa okubeera , van Dijk [sic] alina byonna." Dario Pergolizzi naye yagamba Van Dijk yali mukozi mulungi mu 2019.
Mu 2019, bweyali mu mboozi eyakafubo n'abaMarca, Lionel Messi yabuzibwa lwaki Van Dijk yali muzibu okuyitako, omuArgentina yaddamu: "Ye muzibizi amannyi okulamula obudde n'alinda obudde obutuufu olw'ekwengaana abeera amulumbye. Alina obwangu ng'ate munene naye nga muwaguufu bulungi. Mwangu mukuzibira ne mukulumba ekimuleetera n'okuteeba ggoolo eziwera." Mu mwaka gwegumu, Paul Merson yamunyonyola nga bw'ali omuzannyi asinga munsi yonna era mu kuzibira.."
Mu 2022,Erling Haaland yalonda Van Dijk ng'omuzibizi gweyali asisinkanye, n'amuyita" omwangu, ow'ekiwago, n'omuguku omulungi", n'okumutendereza kungeri gy'apimamu obudde.
Van Dijk atera kukozesa linnya lye erisooka ku mujoozi, ng'okusinziira ku kojja weSteven, kino kiva mufamire yaabwe ne kitaawe Ron van Dijk, eyabalekulira nga Virgil akyali mwana muto. Virgil mufumbo eyawasa omwagalwa we gweyalina okuva mu buto, Rike Nooitgedagt, nga balina abaana bana.[lower-alpha 1] Okusinziira ku mikutu egimu muChina, Van Dijk alina obulandira muggwanga lino. Hellen Fo Sieeuw, maama we alina emirandira muChina. Erina ly'ekika erya 'Fo Sieeuw' rigibbwa ku jjajja wa jjajja we , Chin Fo Sieeuw (陈火秀), eyasenguka okuva muGuangdong okugenda muSuriname mu 920.