Omupiira ogw'ebigere mu mbeera ezabulijjo guzannyibwa okumala eddakiika 90. Zino zaawulwamu ebitundu bibiri eby'eddakiika 45 buli kimu era nga oluvanyuma lw'ekitundu kyomuzannyo ekisooka abazannyi bawummulamu.Omuzannyo gw'omupiira gutwalibwa okuba nga gwe muzannyo ogusinga okuba omuganzi okwetoloola ensi era nga gwetabwamu abazannyi abali eyo mu bukadde 240 okwetoloola ensi[1]
Omupiira ogwatuumibwa erinnya Jabulani. Guno gwe gwazanyibwa muWorld Cup eyasooka ku lukalu lw'omuddugavu Afirika mu mwaka 2010 eSouth Africa
Omuzannyo gw’omupiira guzannyibwa okusinziira kuMateeka g’Omuzannyo, era nga amateeka gano yadde gazze gakolwamu ennongosereza gabaddewo okuva mu mwaka1863 era nga galabirirwa era negakuumibwaIFAB okuva mu 1886. Omuzannyo guno erinnya lyagwo ligusimbuliza ku mupiira omwekulungirivu ogusambibwa abazannyi okugwetolooza ekisaawe.
Ebibinja byabazannyi ebiba byekozeemu tiimu biruubirira okuyingiza omupiira mu ggoolo ya ttiimu endala era nga ttiimu esinga endala okusaza layini ya ggoolo emirundi eminji yewangula omuzannyo oluvannyuma lw'obudde obugere[2]. Mu kiseera nga omupiira guzannyibwa, abazannyi yadde basinga kukozesa bigere byabwe okutambuza, okugaba, oba okusimula omupiira, naye era bayinza okukozesa ekitundu ekirala kyonna eky’emibiri gwabwe, okuleka ekitundu eky'omukono(Kino ky'ekitundu ky'omubiri okuva ku kibegabega okutuuka ku kibatu n'engalo).Abakuumi ba ggoolo bokka (bu luuyi luba n'omu mu muzannyo) be bakirizibwa okukozesa emikono gyabwe nga bazannya kyokka nabo kino bakikolera mu ntabwe(box) wokka.[3]
Yadde nga ggoolo ebalibwa okuba nga eteebeddwa ssinga omupiira gusala olukoloboze mu kifo awali ggoolo, waliwo embeera esobola okulemesa ggoolo okubalibwa, okugeza singa oyo ajiteeba aba 'akuumye'(okuba nga asangiddwa mabega w'omuzannyi asembayo wa tiimu gyavuganya nayo), oba nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa mu lulumba oluvuddemu okuteeba ggoolo. Mu muzannyo guno, tiimu bwezisibagana kiyitibwa okukolaamaliri era okusinziira ku mpaka kino mwekibeereddewo omupiira gusobola okuggwa gutyo oba omupiira okugenda mubudde obw’enjawulo(obwongerwamu okusukka ku ddakiika 90) oba okugenda mu kusimulagana peneti okufuna omuwanguzi[4]
Mu nsi yonna, omupiira gw'ebigere gufugibwaFIFA . bwova ku mutendera gwensi yonna ogwa FIFA, waliwo ebibiina ebirala mukaaga nga bivunaanyizibwa ku zi ssemazinga:AFC,CAF,CONCACAF,CONMEBOL,OFC, neUEFA .[5] Ku bibiina bino, CONMEBOL eyatandikibwawo mu 1916 y’esinga obukadde. Buli ggwanga ku mutendera ogwa ssekinnoomu lirina ekibiina kyalyo ekiddukanya ensonga z'omupiira okugeza ngaFUFA muUganda obaThe FA eBungereza. Mu mupiira mulimu empaka ez'enjawulo era ezitegekebwa ku mitendera egyenjawulo naye ezisinga okuba ku mutendera ogwa waggulu n'obuganzi ze;FIFA World Cup (ekikopo ky'ensi yonna) neFIFA Women's World Cup (ekikopo ky'abakyala eky'ensi yonna). Ekikopo ky’ensi yonna eky’abasajja kyekimu ku mizannyo ejisinga okulabibwa mu nsi yonna, era nga kivuganya butereevun'emizannyo gya Olympics .[6] Ku mutendera ogwa kirabu (ezitali z'amawanga)UEFA Champions League neUEFA Women’s Champions League, nga zonna mpaka ziwakanirwa kirabu zi kirimegga ku lukalu lwa Bulaaya z'empaka ezisinga obuganzi[7]
Omuzannyi wa Uganda Alpha Ssali mu mujoozi gwa tiimu y'eggwanga eyabali wansi w'emyaka 20 omutongole
Ebyafaayo by'omupiira mu Uganda ebitongole okusinziira ku biwandiiko bitera okujuliza omwaka 1897 nti gwegwatandiikiriza omuzannyo guno wano ewaffe ku butaka. Era okusinziira ku biwandiiko bya National Council of Sports ebiri kumutimbagano gwayo Omwami omungerezaPilkington yatandikiiriza okuyigirizaAbaganda omuzannyo guno ku kasozi Namirembe muKampala. Mu bayigirizibwanga mwalimu n'abakungu mu Bwakabaka bwa Buganda kwossa n'abalangira oluusi abajjanga nabayambi baabwe okubasitulira zi manvuuli omusana guleme kubookya oba okusitula obutebe abalangira batuuleko nga bakooye bino nga kwogasse n'okuba nti abantu Pilkington beyatendekanga omuzannyo amateeka gabalema okukwata byamulumya nnyo omutwe ate oluusi nebimussa enseko.[11] Ekibiina kiFUFA mu biro ebyo ekyayitibwanga Kampala Football Association kyatandikibwawo mu mwaka 1924 okwongera okusobozesa omuzannyo guno okufuna emisinji eminywevu.[12] Omuzannyo guno era gwaganja nyo mu lulyo olulangira era mu zimu ku ezo empaka ezasooka okutegekebwa mulimu ezo ezayitibwangaKabaka's cup era nga wegwatuukira omwaka 1950 nga tiimu eziri eyo mu 30 zivuganya mu kikopo kino. Kabaka waBuganda owa 34Daudi Chwa II era yeyasooka okukulembera FUFA mu mwaka 1924 okutuuka 1934[13]