Fred Masagazi (1937–2009) yaliMunnayuganda omuyimbi wa "Afrojazz".[1][2] Ye Munnayuganda omuyimbi eyasooka okuba n'oluyimba olwazanyibwa kuBBC, n'oluyimba lwe "Kolazizo", mu mwaka 1963.[3]
Masagazi yatandika okuyimba mu 1955 nga omuyimbi mu kibiina Kyabakongo, "Tinapa", mweyayimbira Olukongo n'oluganda.[4] Oluyimba lwe erwasooka lwali "Atanawa Musolo", lweyafulumya ngaUganda tennafuna bwetwaze mu 1961. Oluvannyuma yafulumya "Osaana Okole" mu 1962 ne "Lucy Tuula" mu 1963. Masagazi yali muyiiya w'ennyimba omukugu eyayimba okumala emyaka 50. Yali omu ku bayimbi ba Kadongo Kamu abatono abaali basobola okuyimba, okukuba gitta, n'okuzannyikiriza nga ayimba ku siteeji.[5] Yataandikawo ekibiina kye eky'okuyimba, ki "UK Jazz Band" mu 1963.[6] Ekibiina kye bwe kyasasika, yawalirizibwa okuyimba n'ebibiina eby'enjawulo nga "King Jazz Band", "Kampala City 6 Band" ne "BKG Band".[4] Oluyimba lwe "Atanawa Musolo" lwabalibwaDaily Monitor nga olumu ku "Nnyimba 50 ezitaggwako era ezikomyawo ebijjukizo" mu kimu ku bitundu bya lwo eby'ogera ku meefuga ga Uganda ag'omulundi ogwa 50.[7][8]
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)Lua error: Invalid configuration file.